Proverbs 3:13-18


13Aweereddwa omukisa oyo afuna amagezi,
omuntu oyo afuna okutegeera,
14 akubanga amagezi gasinga ffeeza
era galimu amagoba okusinga zaabu.
15 bAmagezi ga muwendo mungi okusinga amayinja ag’omuwendo omungi:
era tewali kyegombebwa kiyinza kugeraageranyizibwa nago.
16 cMu mukono gwago ogwa ddyo mwe muli obuwanguzi;
ne mu mukono gwago ogwa kkono ne mubaamu obugagga n’ekitiibwa.
17 dMu magezi mulimu essanyu,
era n’amakubo gaago ga mirembe.
18 eAmagezi muti gwa bulamu eri abo abagakwata ne baganyweza;
abo abagakwata ne baganyweza baliweebwa omukisa.
Copyright information for LugEEEE